Jump to content

Mildred Barya: Difference between revisions

Bisangiddwa ku Wikipedia
Content deleted Content added
Created by translating the page "Mildred Barya"
(No difference)

Enfaanana y'olupapula luno ku saawa 08:00, 2 Gwakuna 2024


 

Mildred Kiconco Barya muwandiisi era mutontomi okuva mu Uganda.[1] Yaweebwa Awaadi ya 2008 Pan African Literary Forum Prize for Africana Fiction, n'oluvanyuma yasiimibwa olw'ekitontome kye n'okusingira dala ebitontome bye eby'asooka, Men Love Chocolates But They Don't Say (2002) ne The Price of Memory: After the Tsunami (2006).[2][3]

Barya yakolako nga munnamawulire era omuwandiisi. Okuva mu Gwomunaana 2007 okutuusa mu Gwomunaana 2009, yaweereza ng'omuwandiisi wa TrustAfrica, ekitongole ekitaba amawanga ga Africa nga kisangibwa mu Dakar, Senegal. Yatikkirwa mu Pulogulaamu ya MFA ku Syracuse University, New York, mu 2012, PhD mu kuwandiika ebiyiiye okuva ku University of Denver mu 2016. Yaki mmemba mu ssomo ly'ebwandiike ebiyiiye ku Alabama School of Fine Arts (ASFA).[4] [1] Abaddeko era awangaldde mu nsi nga Germany, Botswana, Kenya ne Uganda. Okuggyako emirmu ge egy'obuwandiisi, Barya era aweerezako ng'omuwabuzi w'akwasaganya abakozi ku Ernst & Young mu Uganda,[5][6][7] era asomesa okuwandiika ebiiiye ng'essomo ku University of North Carolina at Asheville.[8]

Barya omu ku ba mmemba abatandisi[9] era aweereza ng'omuwanbuzi ku kakiiko ka African Writers Trust,[10] "Ekitongole ekitakola magoba naye nga kigenderera okuleeta awamu abawandiisi Abafirika nga bawangalira mu mawanga g'Ebulaaya n'abo abali mu frica okutumbula obukugu mu kuwandiika n'ebirala saako n'okuwanyisaganya amagezi n'okusomesa mu bibinja by'ombi."[11]

Emisomo gye

Yazaalibwa mu Disiyulikiti y'e Kabale mu Bukiikaddyobwobugwanjuba bwa Uganda, Barya yasomera ku Mwisi Primary School ne Kigezi High School. Mu 1996, yaweebwa Sikaala ya Gavumenti enzijuvu okusomera ku Yunivasite y'e Makerere mu Uganda. Yatikkirwa mu 1999 ne Diguli mu lulimi eya BA in Literature. Era yegatta ku kibiina ky'abakayala abawandiisi ekya FEMRITE—Uganda Women Writers Association, ng'eno yali akola ne Goretti Kyomuhendo, eyali omukwanaganya wa Pulogulaamu ne Violet Barungi, eyali omusunsuzi wa FEMRITE.[6][12][13]

Mu 2000, Barya yakola essomo lya Satifikeeti mu by'empuliziganya obusuubuzi ne Tekinologiya ku Yunivasite y'abayala eya International Women's University, Vifu, mu Hamburg, Germany. Mu 2002, yasoma emisomo gy'okusunsula n'okufulumya (Editorial Practices and Publishing Management) ku Moi University, Eldoret, Kenya. Okuva mu 2002 okutuusa 2004, yegatta ku Yunivasite y'e Makerere okufuna Diguli mu nneyisa y'abantu (Organisational Psychology).

Mu 2006–2007, Barya yateekateeka omukolo gw'abawandiisi ku Per Sesh Writing Program mu Popenguine, Senegal, wansi w'okuzimba kwa Ayi Kwei Armah.

By'eyawandiika n'ebyo ebyavumirirwa

Ebitontome Barya byeyasooka okufulumya ebya Men Love Chocolates But They Don't Say, byawangula Awaadi ya Ugandan National Book Trust Award eya 2002. Ebirala by'eyazaako okuwandiika, The Price of Memory: After the Tsunami, byafuna obuganzi nga bwebijuliziddwa wansi.

Yusuf Serunkuma Kajura, omwekennenyi wa The Weekly Observer (Uganda) yagamba nti ebitontome ba Barya "bimulisa ekifaananyi kya Afrika, ebrowoozo ebisendasenda era nga bigeregeranyizibwa ku kitontome ekiwanvu ekya Okot p'Bitek, Song of Lawino." naye ekitontome kya Barya "kileeta embeera y'okwesunga, era enzibu okunyonyola mu bakyala singa bwekiri mu kwewozaako kwa Lawino eri ebyennono ebigobererwa mu Afrika."[14]

Gaaki Kigambo, omwekennenyi w'olupapula lw'amawulire olwa Sunday Monitor, yagamba nti "ebiwandiiko bya Barya bisinzirira ddala kw'ebyo by'etwamanyiira. Ku mulembe guno ogwa masimu buli omu agyakukiraba n'omukwano ogukakasiddwa." Kigambo ebitontonme ng'ebyo "by'olesa omukwano oguli mu Barya."[15]

Okusinzira ku bitontome Barya byeyafulumya ku mulundi ogwokusatu, Give Me Room To Move My Feet (2009), Peter Nazareth, Pulofeesa w'oLungereza ku University of Iowa, USA, yagamba nti "omutontomi y'emenya n'okwezza okuyita mu mwoyo, eddiini, n'ebitontome okuzza obulamu mwebyo eby'ali byalowoozebwa nti by'afa" era Barya "talekerawo kwagala maama we Africa."[16]

Ekiwandiiko kya Barya kyalabibwako mu bitonome bya FEMRITE, Commonwealth Broadcasting Association, African Love Stories, Picador Africa, ne Pambazuka News. akatundu akagibwa mu katabo ke aka What Was Left Behind kamuwanguza empaka za 2008 Pan African Literary Forum Prize for Africana Fiction, nga yali elamulwa Junot Diaz, omuwandiisi eyawangula Dominican-American Pulitzer Prize. Ali omu kubawandiisi b'ebitontome bya 2019 New Daughters of Africa, ebyasunsulwa Margaret Busby.[17]

Awaadi zeyafuna

  • 2008: Pan African Literary Forum Prize for Africana Fiction[18]
  • 2015: Sylt Foundation African Writer´s Residency Award[19]
  • 2020: Linda Flowers Literary Award for creative non-fiction entry "Being Here in This Body"[20]

Emirimu gye egyafulumizibwa

Ebitontome

  •  
  •  
  •  
  • "A fragile heart", "If I was" in  Femrite Publications. 2009. ISBN <bdi>978-9970-700-18-9</bdi>.
  • "Stormy heart", in  (2014). A thousand voices rising: An anthology of contemporary African poetry. BN Poetry Foundation. ISBN <bdi>978-9970-9234-0-3</bdi>.

Ebiwandiike ebimpi

  • "Raindrops", in  (2001). Words from a Granary. FEMRITE Publications. ISBN <bdi>9970-700-01-4</bdi>.
  • "Scars of Earth", in  (2006). African Love Stories. Oxfordshire, UK: Ayebia Clarke Publishing. ISBN <bdi>0-9547023-6-0</bdi>.
  • "Effigy Child", in  (2006). Gifts of Harvest. FEMRITE Publications. ISBN <bdi>978-9970700042</bdi>.
  • "Effigy Child", in  (2008). Dreams, Miracles & Jazz. Picador Africa. ISBN <bdi>978-1-77010-025-1</bdi>.
  • "What was left of us", in Pambazuka News, 2008.
  • "Black Stone", in Per Contra: An International Journal of the Arts, Literature, and Ideas, 2012. Reprinted in New Daughters of Africa, Margaret Busby, ed., 2019.

Ebijuliziddwamu

  1. http://www.monitor.co.ug/artsculture/Reviews/-/691232/1294386/-/50513z/-/index.html
  2. http://mildredbarya.com/?page_id=2
  3. http://www.panafricanliteraryforum.org/contest.html
  4. http://www.asfa.k12.al.us/index.cfm?event=faculty.view&id=145
  5. http://www.trustafrica.org/index.php?option=com_content&task=view&id=123&Itemid=103&lang=en
  6. 6.0 6.1 http://radiophonics.britishcouncil.org/magazine/issueten/
  7. http://mildredbarya.com/wp-content/uploads/2008/06/press-release.pdf
  8. https://english.unca.edu/faces/mildred-barya
  9. http://www.pambazuka.org/en/category/books/75591
  10. http://www.africanwriterstrust.org/advisory-board
  11. http://www.africanwriterstrust.org/
  12. http://afrolit.com/ugandan-writers-meet-mildred-barya-kiconco/335/l.aspx
  13. http://www.africanwriter.com/articles/508/1/I-try-to-highlight-social-issues-affecting-women---Violet-Barungi/Page1.html
  14. http://www.ugandaobserver.com/new/archives/2007arch/ent/may/ent2007042611.php
  15. http://www.monitor.co.ug/artman/publish/insights/Barya_the_romanticist_unveiled.shtml
  16. http://www.amalion.net/catalogue_en/item/give_me_room_to_move_my_feet/
  17. https://www.nation.co.ke/lifestyle/weekend/New-Daughters-of-Africa-a-must-read-for-women-writers/1220-5422114-s2c04fz/index.html
  18. http://mildredbarya.com/one-writer%e2%80%99s-postcard-the-pan-african-literary-forum-in-ghana/
  19. https://www.syltfoundation.com/Latest-news/Winner-of-the-2015-Sylt-Foundation-African-Writer-s-Residency-Award-announced-/
  20. https://mountainx.com/blogwire/unca-assistant-professor-mildred-k-barya-wins-2020-linda-flowers-literary-award/

Lua error: Invalid configuration file.