Jump to content

Enjatuza

Bisangiddwa ku Wikipedia
Enjatuza

ENJATUZA

[kyusa | edit source]

Enjatuza ye ennukuta empeelezi eyamba okufunyisa ensilifu eddoboozi esobole okwatulwa omuntu nga ayogela. Enjatuza za Oluganda zili ttaano **5** ela ze zino: **a, e, i, o, u**. Enjatuza zino bwe zigattibwa ku nsilifu nga k tufuna amaloboozi nga ka, ke, 'ki, 'ko, ne ku

Enjatuza za Oluganda zisobola okulabikila mu buli kifo mu kigambo, kwe kugamba ku ntandikwa, wakati ne ku nkomelelo. Enjatuza za Oluganda nate zisobola okuweelela ensilifu yonna olwo ennyingo eyo ne efuna eddoboozi elimpi oba eliwangaala. Eddoboozi elimpi libaako enjatuza emu, nga kano. Eddoboozi eliwangaala litela kukolebwa na njatuza bbili eza omuko ogumu oba eza nnabansasaana, okugeza kaati.