Jump to content

Nnamusuna

Bisangiddwa ku Wikipedia
olususu olulaga obubonera bwa namusuna

Nnamusuna mwawufu ku kawaali era ng’aleetera omuntu obutulututtu. Wabula, buno butuuka ekiseera ne buggwaawo nga buleese obutuulituuli obutono ku lususu. Ebiseera ebisinga obutulututtu butandikira mu kifuba, mu mugongo ne mu maaso olwo ne bulyoka busaasaana omubiri gwonna. Mu bubonero obulala muyinza okubaamu: omusujja, okuwulira obukoowu n’okulumwa omutwe, obubonero buno bubaawo mu nnaku ttaano oba kkumi. Bwe kityo ebitera okuva mu bubonero obwo bye bino; lubyamira, inflammation of the brain n’ebirala.[1]

Nnamusuna bulwadde obusaasaanira mu mpewo. Omuntu bw’akolola oba n’akuba omwasi asobola okusiiga oyo atalina bulwadde obwo. Nnamusuna ayinza okusasanyizibwa oluvannyuma lw’olunaku lumu oba bbiri ng’obutulututtu tebunnalabika. Omuwendo gw’abalwadde ba nnamusuna gukendedde oluvannyuma lw’okufuna eddagala erimugema (varicella vaccine). Okugemesa abaana mu nsi ez’enjawulo kukolebwa mu mitendera egy’enjawulo.

Obujjanjabi bwa Nnamusuna

[kyusa | edit source]

Obumu ku bujjanjabi bw’omuntu alwadde nnamusuna bwe buno wammanga; calamine lotion eyamba ku kujjanjaba okusiiyibwa, okukuuma enjala nga nnyimpi okwewala okweyagula n’okumira panadol okujjanjaba omusujja. Nnamusuna asobola okukwata buli muntu mu nsi yonna. Okugeza, mu mwaka gwa 2013 abantu obukadde 140 be balwala nnamusuna ne kisipi. Ate abantu 7,000 be baafa olwa nnamusuna.

Obubonero bwa nnamusuna

[kyusa | edit source]

Obumu ku bubonero obusooka okulabika mu bakulu bwe buno wammanga; obutaagala kulya, okusiiyibwa wamu n’omutwe, nga bino bigobererwa okubutukabutuka n’olusujjasujja olulanga obulwadde. Mu baana abato okubutukabutuka kwe kusooka oba obutulututtu ku bibuno.

Nnamusuna mu baana

[kyusa | edit source]

Obujanjjabi bwa nnamusuna mu baana abato asinziira ku bubonero obubaawo nga abasiriikale b’omubiiri bakyalwana n’akawuka akaleeta obulwadde. Abaana abali wansi wemyaka 12 balina okusalibwako enjala n’okuzikuuma nga nnyonjo nga bwe kisuubirwa nti basobola okwetakula obutulituli okusinga ku bantu abakulu ekiyinza okuleetawo amabwa ku lususu. Bukwaata nnyo abaana abato, laba mangu omusawo ate era kozesa ne ku ddagala nga lino,

  1. Katunguluccumu
  2. Eniimu
  3. Ekiyondo
  4. Molinga
  5. Mujaaja
  6. Nsogasoga
  7. Kifabakazi
  8. Mukuzannume oba Muwiya

<ref: allium sativum/>; <ref:Azadirachta indica/>;<ref:kalanchoe spp/>; <ref:mornga oleifera/>; <ref:ocimum suave/>; <ref:Ricinus communis/>; <ref:spathodea campanulata/>; <ref:warbugiaugandensis

References

[kyusa | edit source]
  1. https://en.wikipedia.org/wiki/Chickenpox