Sekazzi
Sekazzi amanyibbwa mu kikugu nga Citrullus lanatus. Ekimela kino kisibukila mu bitundu bya omukalwe mu bitundu bya Afrika ebya ebbugumu naddala mu bukiikaddyo bwa Omuyabwe (Equator). Ekimela kino kisobola okukulila mu ddungu ku mazzi agabeela wansi ela ne ekibala kyennyini kikola nga ensulo ya amazzi abantu ge banywa. Amakungula mu nsi yonna gawela ttani obukadde 8 nga buggibwa mu ekteya (hectare) obukadde nga 3. Ekimela kyagala nnyo obudde bwa ebbugumu ela obwa omukalwe, k.k. obubugume bwa buli lunaku obuli wakati wa 22 ne 30°C. Obubugume obwa wansi zeetaaga obuwela 18°C ate ne obwa waggulu bwa 35°C. Obubugume bwa omu ttaka bweetaaga ne buba mu kigelo kya 20 ne 35°C. Sekazzi ezikulila mu bbugumu ne omukalwe ziba ne ekiwoomeleze ekiweza ebinnakikumi 11 bwe ozigelanya ne zinnaazo ezibalila mu bunnyogovu eziba ne ebinnakikumi 8. Sekazzi zikulila wakati wa ennaku 75 ne 110 mpozzi okusinziila ku mudde (mbeela ya obudde). Sekazzi zeetaaga ettaka eggimu eliyiikayiika ne obulunge bwa obugimu (pH) obuli wakati wa 5.8 ne 7.2. Bwe ozilima mu ttaka elitali limulungufu zikula mpola ate nazo zennyini zibaako enjatika. Okuzibaza mu bungi ettaka lyetaaga okugimusibwa ne kilo wakati wa 80 ne 100 eza Omuginnyimusa (Nitrogen) mu buli ekteya, Phosphates wakati wa 25 ne 60 buli hectare ate ne Potassium wakati wa 35 ne 80 buli ekteya. Sekazzi kilime ekinyuma okulima, ekikula amangu ate nga kiwoomu. Ensigo za sekazzi zigule mu matundilo ga ebilime ageesigika.
ENNIMA YA SEKAZZI Okulima sekazzi ne akunyumila gezaako okugobelela emitendela gino bulungi.
Omutendela 1 Londa ekifo ekyetadde we onoolima sekazzi. Sekazzi zaagala nnyo aweetadde ate ne enjuba.
Omutendela 2
Tegeka ennimilo. Sekazzi empoomu zaagala nnyo ettaka eggimu. Ettaka lisinsimule okoolemu omuddo gwonna ela oguziike mu ttaka. Ettaka lyo lisseemu nnakavundila oba ebigimusa nga DAP.
Omutendela 3 Oyinza okukozesa ennimyo (trakita) oba enkumbi. Oyinza okukola ebituuti kubanga Sekazzi zaagala nnyo awagulumivu naddala ennimilo bwe eba awaseeteevu. Kola ekituuti ekigumu obulungi ekitumbidde fuuti nga emu ate nga obugazi kisingako ku fuuti bbili. Okuva ku kinnya ekimu okutuuka ku kilala buukawo fuuti 5 – 6 kubanga zaagala nnyo okweegazaanya. Ekituuti kiyamba emilandila okweegazaanyiza mu ttaka eggonvu ne okukula obulungi, ne okuganya omulamya (oxygen) mu milandila ne obutobu obususse okukenenuka. Nate kiyamba ne okukuumila amazzi mu ttaka.
Omutendela 4
Oyinza okusimba ne osibusiza ensigo za sekazzi 3 – 5 mu kinnya nga zeesudde. Ziziike mu ttaka nga ekitundu kya inci. Singa ensigo ezimeze zisoba mu ze oyagala, enjabayaba zisalemu nga okozesa ekisaliziso. Tokuula, kubanga okugikuula kujja kutuusa obulabe ku milandila gya eli esigaddewo.
Omutendela 5
Ekiseela bwe kitaba kya nkuba yiililila amazzi ku nsigo ze osimbye, naye ekituuti tokitobya.
Omutendela 6 Ssa ebigimusa ku kituuti oba okwetoolooza ekinnya, wabula endokwa tozibikka.
ENDABILILA YA SEKAZZI Sekazzi zibalila nnyo mu bitundu ebilimu ebbugumu ela zeetaaga ekiseela kiwanvuko. Waliwo ne ebika ebibalila mu bitundu bya obunnyogovu. Awo nno londoba bulungi ekika ekibalila mu mbeela za ekitundu gye ogenda okusiga sekazzi. Sekazzi zeetaaga okulabililwa ennyo bwe oba oyagala zikubalile bulungi.
Omutendela 1 Mu bitundu ebya ebbugumu, ensigo zisimbe buteleevu ku bituuti oba mu binnya. Mu bitundu bya obunnyogovu, sooka osimbe ensigo mu mmelezo. Ela gela bulungi ekiseela olume olukwafu nga teluubeeyo ela ne ettaka nga libugumyeemu. Weegendeleze nnyo nga osimbuliza endokwa. Zipimile ekiseela ekimala (ensanve 2 ku 3) kubanga ziyinza okukufa. Bwe osalawo okuzisimba mu mmelezo kilyose ozimeleze mu busawo oyanguyilwe okuzisimbuliza nga tezikosebbwa.
Omutendela 2 Bikka okweetoolooza endokwa ettaka eggimu obulungi ela likuumilemu amazzi agamala. Okubikka kuziyiza omuddo ate mu bitundu bya obunnyogovu kuyamba ne okukuumila ebbugumu mu ttaka. Okubikka kuno kusaana kube kwa nnakavundila oba oluveela oluddugavu olwakolebwa okubikka ennimilo.
Omutendela 3 Koola sekazzi ne akakumbi akatono, nga weegedeleza obutaziseeseetula milandila gyaazo. Omuddo gukuule bukuuzi olwa obutakosa ndokwa. Okyayinza okwambala enkampa. Weetaaga okukoola lunye, kumpi buli lunaku. Sekazzi zo tezijja kukula bulungi bwe zinaabeela zivuganya ne omuddo ku bigimusa ne ebyeetaago ebilala.
Omutendela 4 Sekazzi ziwe amazzi agazimala so tosukkiliza. Sekazzi zeetaaga amazzi agamala okubala obulungi, kyokka zifa bwe gayitilila. Sekazzi zo zeetaaga amazzi agaweza liita 1.5 buli lunaku okumala emmaku nga 60. Omutendela 5 Kungula sekazzi ekkoola ekililaanye ekinogolelwa bwe kikala. Mu kiseela kya amakungula ekibala kiba kidoodooma ne oluusi entobo nga eyeluukilidde.
ENSALILA YA SEKAZZI
Omutendela 1
Weetegeleze sekazzi zo olabe bwe zili. Zuula enduli lukulwe eya buli kimela. Enduli lukulwe eno ebaako amatabi 3 oba 4 agalanze ku njuyi zonna.
Omutendela 2 Enduli lukulwe laba nga tekoonwaako. Nate taliza ettabi oba amatabi abili agasooka ku buli nduli lukulwe.
Omutendela 3 Obutabi bwonna obulabika nga bunafu oba nga tebusanyusa busaleko nga weeyambisa ekisaziso ekya obwogi. Obutabi obwo tebumulisa ela tebuyinza kubala. Olwa okuba nga sekazzi zinywa nnyo, ebibala ebibili oba ebisatu ebili ku mbowabowa ebbili oba essatu eza amaanyi bye bisobola okukula obulungi. Weegendeleze nnyo obutasala lubowabobowa luliko sekazzi.
Omutendela 4 Lambulilila lunye sekazzi zo ela amatabi agalabika obubi oba amalwadde ogasaleko. Amatabi ge osazeeko gasuule wala oba gookye olwa okuziyiza endwadde. Gezaako okwenkanyankanya ebilyo ne ebibala bya oku sekazzi.
Faayo nnyo ku bino:
1. Sooka okebeze ettaka kwe ogenda okusimba sekazzi. Londa ebifo bina oba bitaano okubuna ennimilo yo ogende nga otema enkumbi, ofune ettaka ly’okugnulu ne eliddako olitabike bulungi. Weza kilo 0.5 olitwale e Kawanda oba awalala wonna we bakebelela ettaka obulungi. Sekazzi zeetaaga ettaka elilimu nitrates, phosphates ne potassium ebimalila ddala.
2. Bwe otuuka okusimba pima bulungi ekiseela kye osobola okulabililamu sekazzi. Bwe oba osobola okufukilila ekyo kilungi ddala. Bwe oba toosobole kufukilila pima bulungi ebiseela bya enkuba eneekumala okumala emyezi 2 (ennaku 60).
3. Genda mu matundilo ga ensigo za ebilime, ogule ensigo ennungi. Oyinza okugula Sugar Baby, Victoria Sugar Baby, Hollande, ne ensigo endala ezibalila mu kitundu kyo.
4. Mu kafo oba mu kinnya mwe ogenda okusimba sekazzi, gimusaawo bulungi ne obusa bwa ente, oba obwa embizzi oba obwa embuzi, kalimbwe wa enkoko ate bwe oba osobodde ne DAP, kubanga zaagala nnyo obugimu obumala obulungi.
5. Bwe osimba mu mmelezo gisiteko akatandaalo ela okabikkeko ebisubi. Amazzi gafukililenga ku bisubi ne oluvannyuma go gakke ku ndokwa awatali kuzikosa. Oluvannyuma lwa ennaku nga 10 yaluulako ebisubi kyokka osigale nga ozifukilila. Kino kiziyamba okufuna omusana obulungi.
6. Sekazzi ziyigganyizibwa nnyo obuwuka kubanga enduli yaako ewoomelela. Amangu ddala nga kaleese obukoola bubili fuuyilako eddagala nga Tafgor, eliwunya kyokka nga si lya bulabe nnyo eli obulamu bwa omuntu. Bwe oba ne nnakavumdila akolebwa mu musulo gwe oba weeyambisa kubanga ye akila.
7. Bwe otuuka okusimbuliza ekinnya kigimuse bulungi.
8. Bwe oba wasimba buteleevu nga tosimbulizza, yisaawo ensanve (wiiki) nga 3 osseeko NPK 23230 oba 24240 oba 25250 ekimela kibe kigimu. Nate bwe wayitawo ensanve (wiiki) 2, ssaako CAN ekimela kibe ne omunnyo ogugumya ekilime ne ekibala. Nate oluvannyuma lwa ensanve 2 ssaako NPK 171717 olwa okumulisa obulungi ne okutonda ebibala ebinyuvu. Mu buli kinnya ssaamu ebijiiko bisatu bisatu ku buli kigimusa.
9. Fuuyila lunye ne ebittabuwuka. Oyinza okweyambisa abalimi ba ennyaanya nnakavundila gwe beeyambisa oba eddagala lye beeyambisa olwa okuziyiza obuwuka okuyingila mu kimuli okutaataaganya eŋŋimusa ya ebibala.
10. Okwetooloola ennimi simbako kasooli asobole okusikiliza enjuki okujja mu nnimilo yo. Osobola ne okussaako olubugilizo lwa obutungulu olwa okutangila obuwuka okulumba ennimilo yo.
11. Weewale nnyo abantu okusaatuukila mu nnimilo yo kubanga embowa za sekazzi ŋŋonvu nnyo ela zikutuka mangu.
12. Ennimilo yo gilambule lunye okukenga obuwuka obugilumbye ne okubutta amangu ddala. Sekazzi atawaanyizibwa nnyo kalalankoma. Twetaaga okufuna eddagala okuva mu balimi bannaffe aba e Kenya tubafuneko eddagala lye bakozesa okumutta.
13. Osobola ne okweyambisa ebiwanilizi ebilala ebya ekika kya folia, nga SUPER GRO okwongela ku mutindo gwa ebibala byo.
14. Sekazzi bwe zissaako weetaaga okuzikyusiliza zibe ne langi ye emu wonna ate ne okuzitaasa okunyigibwa ebintu ebikaluba. Bino byonoona ekikula kyayo ne obulungi bwayo.
15. Tufubenga okwettanila emisomo egitubangula mu bya obulimi, tulongoose omulimu gwaffe.
Ebyo bwe obikugukamu, mu ika emu osobola okusimbamu ebinnya nga 1200 ne okusukkawo. Singa buli kinnya otalizaamu ebikolo bisatu ate buli kikolo ne okilekela embowa 2. Ojja kufuna sekazzi 7200 k.k. (2x3x1200). Singa sekazzi ennene ogisuubuza 2000, olwo oba oyolekedde okukungula wakati wa obukadde 10 ne 14 mu myezi 3. MAAMA NNYABO! TUNYUMILWE OBULIMI!